Philly Bongoley Lutaaya - Diana lyrics

Published

0 986 0

Philly Bongoley Lutaaya - Diana lyrics

Gwe wange era gwe gwenalonda Nebwekiribaki no no sirikuleka Kanjatule mumaso gabanji Gwe wange era nze wuwo Oba bwaavu obano bwebugagga Naberanga nawe kuba gwe gwenalonda Okufa kwekuli twawula Gwe wange era nzewuwo Tuyambaganenga Diani wulila olwalelo Leka nkukuume nganaawe Diani bwonkuuma Nakulonda mubanji Diani babirye omulongo wowo Leka nkutwale mama ewange Omutima gunbeere munteeko Mwatu mweenya nzendabe akazigo Tambula ndabe ebitumbwe Simanyino mama Wotoli Diani ndibeera wa Simanyi obiwulira Diani njazika ku matu go Akazigo mumanyo bwoseka bwoti mpulira fniirawo Leka nkutwaale mama ewange Nkakasa oja kweyagala Tuyambaganenga Diani wulira olwalelo Leka nkukuume nganaawe Diani bwonkuuma Nakulonda mubanji Diani babirye omulongo wowo Leka nkutwaale mama ewange Mutima gunbere munteeko Mwatu mweenya nzendabe akazigo Tambula ndabe ebitumbwe Simanyino maama Wotoli Diani ndibeerawa Simanyi obiwulira Diani njazika ku matu go Kazigo mu manyo bwoseka bwoti mpulira fniirawo ho ho Leka nkutwale mama ewange Nkakasa oja kweyagala Nkwelondeyo mubalungi olutotto Mpadde nobweyamu sirikuleka Ye aliba ani, alikundesa Diani Newadeyo maama, naagondanga Nakugondera nga Diani babirye omulongo Iye maamaye npa omutima Iye maama ye npa omutima ngutwaale Kyenkusaba nze ompenga obweyamu (Diani) Tonvenga kulusegere Nebwengenda wa njagala okudda ng'awooli Mukwano gwange Oh Diani Iye maamaye npa omutima Gumpe ngutwaale Iye maama ye npa omutima ngutwaale Ngansobeza kiriza bwenenenyanga (Babirye) Ebyomukwano byebityo Muno ng'asobezza bwatyo neyenenyanga (Omulongo) Musonyiwengako Oh gwe mama Iye maama ye npa omutima Oh Diana Iye maama ye npa omutima ngutwaale Ebyomumaka tubikuume nga byakyama (Akaweta kaako) Bikwata kufe feka Ebizibu ngabizze abakulu webali Banatulamulanga wesige nze Iye maama ye npa omutima Oh gwe mwana Iye maama ye npa omutima ngutwaale Gwe munange ebye ngaambo tyobyesiga (Wulira) Emikwano gisengejje Abasinga balinda kulaba gwe lwoligwa Ngolwo amanyo kungulu Oh gwe maama Iye maama ye npa omutima Gumpe ngutwaale Iye maama ye npa omutima ngutwaale Oh Diani Iye maama ye npa omutima Gumpe ngutwaale Iye mama ye npa omutima ngutwaale Kaggwa yalayira ekiri muggulu Bwekiribwatuka Ensi erikankana Omwaana omuto aliyita nyina Omukulu omukulu nayita engozi Emu emu zalibiri okuzaala akaliga Ani yakazaala Kyetondeke ekitoke beale vuluba Kaggwa yalayira ekiri muggulu Bwekiribwatuka Ensi erikankana Omwaana omuto aliyita nyina Omukulu omukulu nayita engozi Emu emu zalibiri okuzaala akaliga Ani yakazaala Kyetondeke ekitoke beale vuluba Kaggwa yalayira ekiri muggulu Bwekiribwatuka Ensi erikankana Omwaana omuto aliyita nyina Omukulu omukulu nayita engozi Emu emu zalibiri okuzaala akaliga Ani yakazaala Kyetondeke ekitoke beale vuluba Kaggwa yalayira ekiri muggulu Bwekiribwatuka Ensi erikankana Omwaana omuto aliyita nyina Omukulu omukulu nayita engozi Emu emu zalibiri okuzaala akaliga Ani yakazaala Kyetondeke ekitoke beale vuluba